Joel 2

Okulabula ku Lunaku lwa Mukama Olujja

1 aBakabona mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni.
N’akagombe ak’okulabula kavugire ku lusozi lwange olutukuvu.

Buli muntu yenna mu ggwanga akankane olw’entiisa,
kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde,
era lunaatera okutuuka.
2 bLuliba olunaku olutaliiko ssanyu, olw’ekizikiza;
olunaku olw’ebire ebingi n’ekizikiza ekikutte.
Eggye ery’enzige ery’amaanyi ennyo,
ng’ery’abantu abalwanyi ab’ekitalo, libuutikidde ensozi.
Tewabangawo ggye lirifaanana mu biro byonna eby’edda,
era teribaayo liryenkana mu mirembe gyonna egiriddawo.

3 cEnzige ezikulembedde zirya ng’omuliro ogwokya buli wantu,
n’ezizivaako emabega nazo zibizikiririze ddala ng’ennimi z’omuliro.
Mu maaso gye ziraga ensi erabika bulungi ng’ennimiro ya Adeni,
naye gye ziva buli kimu zikiridde;
ensi yonna zigirese nga ddungu jjereere.
4 dZifaanana ng’embalaasi,
era zidduka ng’embalaasi ez’entalo.
5 eZigenda zibuuka ku nsozi
nga zikekera ng’amagaali agasikibwa embalaasi bwe gakekera;
ne ziwuuma nga bwe zitulikatulika ng’omuliro ogwokya ebisubi ebikalu; era nga
ziri ng’eggye eddene mu lutalo eryetegekedde okulumba omulabe.

6 fAbantu abazirabyeko nga zisembera bali mu bulumi bungi,
era bonna beeraliikirivu.
7 gZirumba n’amaanyi ng’eggye ery’abalwanyi,
ne ziwalampa ebisenge ng’abajaasi.
Zikumbira mu nnyiriri zaazo nga zitereera bulungi
awatali kuwaba n’akamu.
8Tezirinnyaganako,
buli emu ekumbira mu kkubo lyayo.
Ziwaguza mu buli kyakulwanyisa kyonna,
ne watabaawo kisobola kuziziyiza.
9 hZifubutuka ne zigwira ekibuga.
Zikiwalampa ne zibuna bbugwe waakyo.
Zirinnya amayumba
ne ziyingirira mu madirisa ng’ababbi bwe bakola.

10 iZikankanya ensi
era n’eggulu ne lijugumira.
Zibuutikira enjuba n’omwezi,
era n’emmunyeenye tezikyayaka.
11 j Mukama akulembera eggye lye
n’eddoboozi eribwatuuka.
Eggye lya Mukama ddene nnyo era lya maanyi.
Abalirimu abatuukiriza ebiragiro bye ba maanyi.
Kubanga olunaku lwa Mukama lukulu
era lwa ntiisa nnyo.
Ani ayinza okulugumira?

Abantu Bayitibwa Okwenenya

12 k Mukama kyava agamba nti,
“Mukomeewo gye ndi n’omutima gwammwe gwonna.
Mukomeewo n’okusiiba n’okukaaba awamu n’okukungubaga.”

13 lMuyuze emitima gyammwe
so si byambalo byammwe.
Mudde eri Mukama Katonda wammwe,
kubanga ajjudde ekisa n’okusaasira,
era tasunguwala mangu; ajjudde okwagala okutaggwaawo;
n’abandisaanidde okubonerezebwa abasonyiwa.
14 mAni amanyi obanga anaakyuka n’abasonyiwa,
n’abawa omukisa gwe
ne musobola n’okuwaayo eri Mukama Katonda wammwe
ekiweebwayo eky’emmere enkalu, n’ekiweebwayo eky’ekyokunywa?

15 nMufuuyire ekkondeere mu Sayuuni,
mulangirire okusiiba okutukuvu.
Muyite olukuŋŋaana olussaamu Katonda ekitiibwa.
16 oMukuŋŋaanye abantu bonna.
Mutukuze ekibiina ekyo ekikuŋŋaanye.
Muyite abakulu abakulembeze.
Muleete abaana abato
n’abo abakyali ku mabeere.
N’oyo eyakawasa aveeyo mu kisenge kye,
n’eyakafumbirwa naye aveeyo gy’ali.
17 pBakabona abaweereza ba Mukama
bayimirire wakati w’ekisasi kya yeekaalu n’ekyoto,
bakaabirire Mukama nga bamusaba nti, “Saasira abantu bo, Ayi Mukama;
abantu b’obusika bwo tobaleka kugwa mu mikono gya bannamawanga okubafuga
era n’okubasekerera.
Bannamawanga baleme kuduula nga boogera nti,
‘Katonda waabwe ali ludda wa?’ ”

Mukama Asaasira Abantu Be

18 qAwo Mukama n’akwatirwa ensi ye ekisa,
n’asaasira abantu be.
19 rN’ayanukula abantu be nti,

“Muwulirize, nzija kubaweereza emmere enkalu, n’envinnyo, n’amafuta,
ebimala okubakkusiza ddala,
era siriddayo kubaleka, ne mufuuka ekivume,
bannaggwanga amalala ne babasekerera.

20 s“Ndibagobako eggye ery’omu bukiikakkono
ne ndigobera mu ddungu ery’ewala ennyo.
Ekibinja ekikulembeddemu ndikigobera mu nnyanja ey’Ebuvanjuba,
n’ekibinja eky’emabega ndikigobera mu nnyanja ey’Ebugwanjuba.
Ekivundu n’okuwunya birituuka wala
okusinga ebyo byonna bye libakoze.”

21 tMwe abali mu nsi, temutya.
Musanyuke era mujaguze;
kubanga Mukama abakoledde ebikulu.
22 uNammwe ensolo ez’omu nsiko temutya;
kubanga omuddo gwonna mu nsiko gusibukidde.
Emiti gibaze ebibala byagyo,
era emitiini n’emizabbibu nagyo gibaze ebibala bingi.
23 vMusanyuke mmwe abaana ba Sayuuni;
mujagulize Mukama Katonda wammwe.
Kubanga abawadde
enkuba esooka mu butuukirivu.
Era abawadde enkuba nnyingi esooka n’esembayo
mu mwaka ng’obw’edda.
24 wAmawuuliro gammwe galijjula eŋŋaano,
n’amasogolero gammwe galijjula envinnyo n’amafuta n’okubooga ne gabooga.

25“Ndibaddizaawo byonna enzige bye zaalya mu myaka egyo.
Lyali ggye lyange ery’amaanyi lye nabasindikira nga lirimu lusejjera,
n’enzige ezisala obusazi,
awamu n’ezo ezizikiririza ddala.
26 xKale, munaabanga n’ebyokulya bingi nga bwe muneetaaganga.
Munaatenderezanga erinnya lya Mukama Katonda wammwe
abakoledde ebintu ebirungi bwe bityo.
Era abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.
27 yMulimanya nga ndi wakati mu Isirayiri,
era nga Nze, Mukama, Nze Katonda wammwe,
so tewali mulala;
n’abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.

Mukama Afuka Omwoyo We ku Bantu Be

28 z“Awo olulituuka oluvannyuma lw’ebyo,
ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna.
Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza eby’omu maaso;
abakadde baliroota ebirooto,
n’abavubuka bammwe balyolesebwa.
29 aaMu biro ebyo
ndifuka Omwoyo wange ku baweereza bange abasajja n’abakazi.
30 abEra ndyolesa ebyamagero mu ggulu
ne ku nsi:
omusaayi n’omuliro n’ekikoomi eky’omukka.
31 acEnjuba erifuuka ekizikiza,
n’omwezi gulimyuka ng’omusaayi,
olunaku lwa Mukama olukulu era olw’entiisa nga terunnatuuka.
32 adAwo olulituuka buli alikoowoola
erinnya lya Mukama okusaasirwa alirokoka.
Kubanga mu lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi
walibaawo abaliwona
nga Mukama bw’ayogedde,
ne mu abo abalifikkawo
mulibaamu abo Mukama b’aliyita.”
Copyright information for LugEEEE